158 – Kiseera Ki Ekisigadde
S.D.A Hymnal 439
158. Kiseera Ki Ekisigadde?.… ~ How Far From Home?…
1 of 4 verses
Kiseera k(i) ekisigadde
Tutuke mu maka gaffe?
Ekiro kyonna kiggwawo
Enkya esembera.
Totya naye dduka mangu
Laba emambya esala
Tunatera okutuka (E)kiro gye kitaba.
2 of 4 verses
Mbuza mulwanyi munanage,
Naye nanziramu bwati ggwe
Nyweeza nnyo ekitala (O)lutalo terulwe
Kale totya, naye guma,
Omal(e) omulimu gwonna;
Lab(a) olutalo bwe luggwa,
Tulifuna engule.
3 of 4 verses
Mbuuz(a) ebitonde eby’omunsi,
Nebigambira wamu
Ebiro biri kumpi nnyo , Ensi empya ejje
Kale guma nnyo tokaaba, Bingi biraga ebiro
Buli kitonde Kirinze (O)kuvuga kw’engombe.
4 of 4 verses
Kiseera si kinene nnyo
(O)mutambuze asanyuke
Ennaku ze nga ziwedde
(A)maziga gaggwewo Kale sanyuka nnyo nnyini
Tuli kumpi okutuuka,
Tube n’essanyu bulijjo Mu nju ya Kitaffe.