137 – Kye Kiseera Ekirungi

137. Kye Kiseera Ekirungi.… ~ Tis the Blessed Hour of Prayer…

1 of 4 verses

Kye kiseer(a) ekirungi
Ky’okusaba nate,
Katufukamire mu
maaso g(a) entebbe;
Nga tukkiriza Yesu,
tumusemberere;
Mwe abakooye Mujje…
Muwummule leero!

Chorus:

Tufukamire,
Nga tuku’nganye,
Mwe abakooye mujje…
Muwummule leero!

2 of 4 verses

Kye kiseer(a) ekirungi
ky’okusemberera,
N’okumusinza
Yesu Omulokozi;
Mukama awulira
Okusaba kwaffe,
Mwe abakooye, mujje…
Muwummule leero!

3 of 4 verses

Kye kiseera tutwal(e)
(E)nnaku zaffe zonna,
Tuziweeyo eri
Oyo atwagala;
Atuwanguze fenna
Mu (e)bikemo byaffe,
Mwe abakooye mujje…
Muwummule leero!

4 of 4 verses

Kye kiseer(a) ekirungi,
Yesu yasuubiza,
”Munoonye, mulabe,
era mukkirize,”
Katumwesige leero,
N’okumugondera,
Mwe abakooye mujj…
Muwummule leero!

Back to top button