129 – Kirungi Okwesiga Yesu
129. Kirungi Okwesiga Yesu.… ~ Tis So Sweet to Trust…
1 of 4 verses
Kirung(i) okwesiga Yesu,
N’ekigambo kye kyonna;
N’ebyo ye bye yasuubiza,
Enbyava mu kamwa ke.
Chorus:
Yesu, Yesu nga mmwesiga;
Nga mmukakasizza nnyo!
Yesu,Yesu Omulungi!
Mp(a) Ekisa nkwesigenga
2 of 4 verses
Kirungi okwesiga Yesu,
Twesige Omusaayi Ggwe
Tukirizze tunaazibwe,
Mu nsulo etukuza
3 of 4 verses
Kirungi okwesiga Yesu,
So si bikolwa byaffe,
Mu Ye tufune obulamu,
essanyu n’emirembe.
4 of 4 verses
Nsanyuka, kuba mmwesiga
Yesu Ow’omukwano;
Era mmanyi ali nange,
(O)kutuus(a) enkomerero