127 – Bwe Nfuna Eddembe
127. Bwe Nfuna Eddembe Mu Bulamu Bwange.… ~ When Peace Like a River…
1 of 4 verses
Bwe nfun(a) eddembe Mu bulamu bwange,
Oba bwe mbeera mu nnaku.
Onjigirize okukkirizanga,
Buli mbeera yonna mw’ontadde.
Chorus:
Mirembe, mirembe; Mukama njagala mirembe.
2 of 4 verses
Setani bw’aleeta ebikemo bye,
Yimusa essuubi lyange,
Nti Yesu alab(a) obunafu bwange,
Era Ye atambula nange.
3 of 4 verses
(E)kigambo kino
Kyokka kye nesiga,
Nti ebibi byange byonna,
Byakomererwa ku musalaba gwe,
Mukama Yesu yebazibwe.
4 of 4 verses
Mukama ayanguye olunaku,
Olulibikkula byonna;
(E)ssubi liritukirira bw’alijja,
Ndimulaba Yesu
n’amaaso.