122 – Newaddeo Gy’oli Yesu

122. Newaddeo Gy’oli Yesu.… ~ All to Jesus I surrender…

1 of 4 verses
Newaddeyo gy’oli Yesu,
Newaddeyo nze nzenna;
Nkwagala era nkwesiga,
W’oli we nnabeerange.”

Chorus:
Newayo gy’oli,
Newaayo gy’oli,
Newaddeyo gy’oli Yesu,
Newaayo gy’oli

2 of 4 verses
Newaddeyo gy’oli Yesu,
Ndi wano mu maaso go;
Nziyako eny’ensi byonna,
Onfuule omwana wo.

3 of 4 verses
Newaddeyo gy’oli Yesu,
Onnaze ontukuze;
Omwoyo wo abe nange,
Ntegeere nga ndi wuwo.

4 of 4 verses
Newaddeyo gy’oli Yesu,
Mpulira amaanyi go,
N’essanyu ly’obulokozi,
Nkwebaza nnyo Mukama.

Back to top button