114 – Mukama Netaaga Okuba Omulungi

114. Mukama Netaaga Okuba Omulungi… ~ Lord Jesus, I Long to be

1 of 4 verses
Mukama netaag(a)
“Okub(a) omulungi,”
Era njagala otulenga mu nze.
Omalemu byona ebitasaana
Ontukuze okusing(a) omuzira.

Chorus:
Onnongose mu musayi gwo
Ebyonno byange byonna
Biggwewo

2 of 4 verses
Ntunulira nga oyima mu ggulu,
Ombeere okuleka buli kibi,
Newddeyo nzenna mu mikono gyo,
Onnaze mu musayi
gwo ntukule.

3 of 4 verses
Kino kye nkusaba,
Nga lwe wattibwa ku lw’ebibi byane,
Omusayi gwo gunnazek(o)
Ebibi, Ntukule”
Okusinga omuzira.

4 of 4 verses
Mukama olaba bwe Nkusuubira
Jjangu ompe Omutima omuggya.
Gwe atagamba bajja nti muveewo
“Onnaze mu musaayi
Gwo ntukule.

Back to top button