111 – Omusawo Ali Kumpi
111. Omusawo Ali Kumpi… ~ The Great Physician …
1 of 4 verses
Omusawo ali kumpi,
Mukama ow’ekisa;
Azzam(u) amaanyi (A)bakooye,
Wulir(a) eddobozi lye.
Chorus:
Asinzibwa mu ggulu,”
N’asinzibw(a) ne ku nsi
Kirungi okuyimba
Ku linya lye Yesu.
2 of 4 verses
Ayi omwana gw’endiga,
Nzikiriza (o)kufa kwo;
Nsanyukira erinnya lyo,
Ery’omuwendo mungi
3 of 4 verses
Erinnya lye lindokola,
Erinnya lye lye lyokka
nsanyukira Okuwulira;
Yesu nag asinzibwa
4 of 4 verses
Bwalikomawo n’engule,
Engule Ey’obulamu;
Tulituula wamu naye,”
Twekulise ens(i) eno