107- Yesu Akuyita Ffenna

107. Yesu Atuyita Fenna.… ~ Hark! The Voice of Jesus…

1 of 4 verses

Yesu atuyita fenna,
Tukole mu nnimiro;
Kubanga zonna
zengedde,
Anakola aluwa?
Ayita ggwe era nange,
Empeera ye
nnene nnyo;
Ani addamu n’essanyu,
Nti “Nze nzuno;
ontume.”

2 of 4 verses

Ne bw’otogenda wala
nnyo
kunoonya ababula,
Ojja kubasanga bangi,
Kumpi ku mirirano,
Oba toli mwogezi
nnyo,
Okwenkana Paulo,
Yogera ku Yesu
kyokka,
Nga yafa kulwa
bonna.

3 of 4 verses

Obanga toli
mukuumi,
Ku bbugwe wa
Sayuni,
Nga obalaga ku Yesu,
“Ekkubo
n’obulamu.”
Ggwe nyikira mu
kusaba,
Ye anakola byonna,
Ojja kuba nga Aloni,
(O)kuwanirira Musa.

4 of 4 verses

Abantu bazikirira,
Mukama akuyita,
Togezako kugamba nti
“Nze siriiko kye
nnyinza.”
Kola gwonna
gw’akuwadde,
Era kole n’essanyu;
Bw’akuyita ddamu
bw’oti,
Nti “Nze nzuno:
ontume.”

 

Back to top button