104 – Yesu Wange Y’agamba Nti
S.D.A Hymnal 226
104. Yesu Wange Ya’angamba Nti.… ~ Heard the Voice of Jesus Say…
1 of 3 verses
Yesu wange ya’ngamba nti
“Jjangu owummuyle;
Wanuula ggwe akooy(e) ennyo.
Mu kifuba kyange”
Ayi Yesu, najja gy’oli
Nali omunaku:
Nawummuliranga mu Ggwe
Ompadde (e)ssanyu lyo.
2 of 3 verses
Yesu wange ya ngamba nti,
“Kye nkuwa kya buwa;
Nywa (a)mazzi ag’obulamu
Owon(e) enyonta yo”
Ne nsembera (a)wali Yesu
Ne nywa (a)mazzi ago;
Ne nfuna(a) amaanyi mu mwoyo Kakano ndi wuwe.
3 of 3 verses
Yesu wange ya’ngamba nti,
“Ensi ya nzikiza,
Tunulira Nze ofune
(O)musana gw’omwoyo.”
Ne ntunula eri Yesu,
Ye nanjakira nze
kantambuliranga mu Ye
Ekkubo ly’essanyu.