103 – Yesu Ayita N’ekisa Ekingi
S.D.A Hymnal 563
103. Yesu Ayita Nekisa Ekingi.… ~ Softly and Tenderly…
1 of 4 verses
Yesu ayita nekisa ekingi
Gwe nange ng`atuyita,
Ayimiride nga alindirira,
Alinda Ggwe era nange.
Chorus:
Mujje, eka, Mwenna
abakooy(e) ennyo!
Yes(u) abayita n’ekisa ekingi
Komawo mangu— e—ka.
2 of 4 verses
Yesu yegayirira tunagaana?
Yegayirira ffena.
Lwaki tugaana ekisa kye kino,
Kyatulaze ffe fenna?
3 of 4 verses
Ekiseera ky’ekisa kye kiyita,
Olinze kuggalirwa?
Esaawa ey’okufa esembera,
Esemberedde ffena.
4 of 4 verses
Lowooza okusuubiza kwe
kwonna,
Kw`asuubiza gwe nange.
Ffe twayoonona naye asonyiye,
Atusonyiye fenna.