97 – Nawaayo Obulamu
S.D.A Hymnal 281
97. Nawaayo Obulamu.… ~ I Gave My Life For Thee…
1 of 3 verses
Nawaay(o) obulamu
okukulokola
(O)musaayi gwange
gwayiika ku lulwo.
(O)kukunula mu kufa,
Kiki kyompadde nze?
(O)kukunula mu kufa,
Kiki kyompadde nze?
2 of 3 verses
Naleka entebe
ey’obwakabaka,
Ewaffe mu ggulu
mu kwakayakana,
Ne nzijja mu nnaku
(e)nnyingi
n’okubonabona,
Ne nzijja mu nnaku
(e)nnyingi
n’okubonabona.
3 of 3 verses
Nalumwa bingi nnyo,
siyinza kutenda
Nagumikiriza
Nkuwonye okufa.
Nanywera
era naguma,
ggwe ogumidde ki?
Nanywera
era naguma,
ggwe ogumidde ki?