93 – Enjuba Y’omwoyo Gwange

S.D.A Hymnal 502

93. Enjuba Y’Omwoyo Gwange .… ~ Sun of My Soul …

1 of 5 verses

Enjuba y’omwoyo gwange,
(O)mulokozi gwe njagala,
Bw’abang(a) anjakir(a) obudde
Tebuja kunzibirira.

2 of 5 verses

Emitawana egy’ensi
Girem(e) okunsikiriza
(O)musana ogw’amaaso go
Okunziyiz(a) okulaba.

3 of 5 verses

Ngend(a) okwebak(a) ekiro,
Onkuume mu kabi konna,
(O)mpaniriz(e) emikono gyo
Onebase mu mirembe.

4 of 5 verses

Enkya, mu ttuntu, n’ekiro,
Era ne mu bifo byonna,
Ggw(e) ayagala abaana bo,
Beeranga nange, tondeka.

5 of 5 verses

Jjanjab(a) abalumwa (e)nnyo,
N’abatayinza kwebaka,
wonya (e)ndwadde zabwe bo,
obaggyeko (o)bubi bwonna.

 

Back to top button