92 – Nga Ffe Tutunulira

S.D.A Hymnal 51

92. Nga Ffe Tutunulira.… ~ Day is Dying in the West…

1 of 4 verses

Nga ffe tutunulira,
Eggulu litegeeza,
Ekitiibwa kyo Yesu,
Ng’okolez(a) ettabaza,
Ez’ekiro.

Chorus:

Oli Mutukuvu, Ayi Mukama!
Ojjudd(e) eggulu n’ensi
Bonna batendereza Ayi Yesu

2 of 4 verses

Kiseera ky’enzikiza
Kitwetolodde, Yesu;
Emmunyenye zibikka
Amaaso ga Katonda,
Tuyimuse.

3 of 4 verses

Mukama w’obulamu,
Waggulu w(a) emmunyenye,
Tuwambatire fenna,
n’emikono gyo, Yesu,
Tukwagala.

4 of 4 verses

(E)mmunyenye bwe zigenda,
Era (e)njuba n’omwezi,
(E)mambya esale ku nsi,
Abantu tuzuukuke Tukulabe.

Back to top button