68 – Nywereranga Ku Katonda
C S 509
68. Nywereranga Ku Katonda Wonna.… ~ Firmly Stand For God…
1 of 3 verses
Nywereranga ku Katonda wonna,
Ne bw’oba ng’oli mu kabi katya;
Oyo lwe Lwazi
lwaff(e) olw’amaanyi,
Mu buli kabi ko-nna.
Chorus:
Leka tugumire nga ku Lwazi lwaffe,
Yesu olwazi lwa-ffe;
“Ffe bwe tuguma tuliyimirira,- – –
Mu maaso ge mu kitiibwa.”
2 of 3 verses
Wonna nywereranga
ku kitufu,”
Ng’oli mugumu mu kukkiriza,
Oyo lwe Lwazi oluwanguza, Eggye lyonn(a) ery’omu-bi.
3 of 3 verses
Wonna nywerera
Nga mu mazima, Byonna byonna birituukirira,
Oyo lwe Lwazi omul(i) eddembe, Nga tuwangudde”
e-nsi.