59 – Yesu Mukama Wange

S.D.A Hymnal 375

59. Yesu Mukama Wange… ~ Work For the Night is Coming…

1 of 3 verses

Yesu Mukama wange,
Nesig(a) amaanyi go;
Sitya balabe bange
Ne bwe bannunba;
Onkuum(a) ennyo lwa
kisa,
Siriko kye ntidde
Mu ngalo za Kitange
Mwe mpummulira

2 of 3 verses

Setani bw’ab(a)
annumba
N’ettima lye lingi;
Buli lw’ajj(a)
okunnimba
Ne nziramu bwe nti,
“Vaawo genda Setaani,
Yesu yakusinga;
Nali nkusenze edda,
Ne nkusenguka.”

3 of 3 verses

Omulokozi Yesu.
tewali ayinza
Okutusikula ffe
Mu mikono gyo;
Alituloopa y(e) ani?
Ggwe watununula,
Wangula Setani,
Tetukyamutya.

 

Back to top button