40 – Jangu Ggwe Omwoyo

S.D.A Hymnal 260

40. Jangu Ggwe Omwoyo… ~ Hover O’er me, Holy Spirit…

1 of 4 verses

Jangu Ggw(e) Omwoyo wa Yesu,
Otuule mu nze lero.
Ontukuze nze omubi,
Jangu mu nz(e) olwa leero.

Chorus:

Beera mu nze leero,
Ofug(e) omwoyo gwange,
Onjijuze amaanyi go,
Jangu ayi Mukama.

2 of 4 verses

Ggw(e) ojjuza omwoyo gwange,
siyinza kukyolesa,
Naye netaaga nnyo ojje,
Jangu mu nz(e) olwa leero.

3 of 4 verses

Ayi Yesu ndi munafu,
Naye nvunamye w’oli,
Tuma omwoyo wo ajje,
Anjijuz(e) obulamu.

4 of 4 verses

Onnongose, ondokole,
Onnaze omutima,
Ggwe aggyako bonn(a) ebibi
Jangu mu nz(e) olwa leero.

 

Back to top button