99. Mujje Mwenna Abakooye.… ~ Come, Ye Sinners, Poor and Wretched…
1 of 4 verses
Mujje mwenna abakooye,
N’okutegana kw’ensi,
Yesu y(e) anabaaniriza,
N’okusaasir(a) okungi;
Mujje mwenna,
Mujje mwenna,
Abayita temutya.
2 of 4 verses
Temutya newakubadde,
Ng’ebibi byamwe bingi;
Kyabakuutira kye kino:
Mwenenye musonyiyibwe;
Omwoyo gwe, Omwoyo gwe,
Ye anabatukuza.
3 of 4 verses
Lab(a) Omwana wa Katonda,
Leer(o) abawolereza!
Munawoona lwa musaayi,
Bwe mwesigira ddala
Ekisa kye, Ekisa kye,
Ekirokola bonna.
4 of 4 verses
Abatukuvu be bonna,
Bamusinza n’essanyu,
Abo munsi ne mu ggulu,
Bayimba (a)matendo ge;
Aleruya! Aleruya!
Yesu Omulokozi.