98. Mujje Eri Yesu Temulwawo.… ~ Come to The Saviour Make no Delay…
1 of 3 verses
Mujj(e) eri Yesu temulwawo,
Atudde muffe wano leero,
Fenn(a) atuyita (o)kusembera,
Ayogera mujje.
Chorus:
Ye atwagala, atwagala
Ye atwagala abonoonyi;
Era yajja okutufiirira
Ffe tutuuke gy’ali.
2 of 3 verses
Mujje abazitowereddwa,
Mwenna abakooye nebibi.
Mujje mwenna nabawummuza
Mujje mwenna gyendi.
3 of 3 verses
Abantu bonna kiyinzika
Leero kusonyiyirwa ddala;
Kub(a) ebibi by’abakkiriza
Byatwalibwa Yesu.