95 – Bye Tukuwa Biva Gyoli
S.D.A Hymnal 670
95. Bye Tukuwa Biva Gy’oli.… ~ We Give Thee But Thine Own…
1 of 6 verses
Byetukuwa biva
gy’oli,
Kabibe nga
byenkana wa
Byetulina byonna
bibyo
Birabo
by’otuteresa
2 of 6 verses
(O)tuwe (e)kisa
tuberenga
(A)bawanika
b(o) abesigwa,
Nga twesoloza
n’omwoyo
Ku bintu bye
tuli nabyo
3 of 6 verses
(A)mawanga
gonn(a) ag’omu nsi
Getaaga nny(o)
Omulokozi;
Abantu be wafiriira
Bawab(a) era
basasana.
4 of 6 verses
Gwe mulimu
gwaffe fenna,
(O)kukomyawo
abakyama;
(O)kunoony(a)
ababula, era
(O)kujjanjab(a)
abafiiriddwa
5 of 6 verses
Bwatyo Yesu
bwe yakola,
Ne yewaay(o)
okutuwonya
Naffe
tumugoberere,
Abonoonyi
balokoke.
6 of 6 verses
Yesu yatuyigiriza,
Ebyo bwe
bimukolerwa;
Fenn(a) atunyikize
wonna
(O)kugaba
n’okumuddiza