91 – Beera Nange
S.D.A Hymnal 50
91. Beera Nange.… ~ Abide With Me …
1 of 4 verses
Bera nange: obudde buzibye:
Enzikiz(a) ekwata: bera nange:
Sirina nze mubezi mulala,
Gw’aber(a) abanaku,
nange, mbera!
2 of 4 verses
Obudde bw’obulamu buziba:
Bwaka katono ne buwungeera:
Byonna(a) eby’ensi,
bidiba, bikyuka:
Ggw(e) atadib(a) atukyuka,
tondeka!
3 of 4 verses
Nkwetaga Gw(e)
emisana nekiro:
Setani ky’atya kubeerawo kwo;
Katonda wange,
(E)bire bwe bijja,
(O)musana bwe gwaka,
bera nange!
4 of 4 verses
Siriko kye ntya,
Yesu, nga w’oli:
Bera nange!
ompanguz(e) ebibi:
Owomes(e) amaziga ne nnaku;
Entana n’okufa tebintiise.