90 – Omukemi Ya’ngamba
90. Omukemi Ya’ngamba. … ~ The Tempter to My Soul…
1 of 4 verses
Omukemi ya’ngamba nti
“Ggwe tolina omubeezi!”
Mukama Ggwe, Ngabo yange,
Gwe onkume, onnyimuse!
2 of 4 verses
(O)bulokozi buva gy’oli,
Mu kifo ky(o) ekitukuvu.
Nkowoola n’eddoboozi.
Bw’oyogera nalokoka.
3 of 4 verses
Golokoka ondokole!
Kubanga Gwe wawangula
Abalabe bange bonna
N’omenya amaanyi gaabwe.
4 of 4 verses
Nagalamir(a) okwebaka
Ne nzukuka,
Ggwe ng(a) onkuuma
Sitya bukumi bwa bantu
Abetolol(a) okunnumba