88 – Webale Okutukuuma
88. Webale Okutukuuma.… ~ New Every Morning…
1 of 5 verses
Webale okutuuma
(O)kutuyisa mu nzikiza;
Kakati nno nga bukedde
Fuka ku ffe ekisa kyo.
2 of 5 verses
Ku lunaku luno (o)luggya
Oziyize obucwano;
Ku baana abato nga ffe
(E)bikemo tubiwangule.
3 of 5 verses
Nga tukola emirimu
Eminene n’emitono,
Ka tuleme kwerowoozako
Okusinga ku bannaffe.
4 of 5 verses
Ka tufaanane nga Yesu
Eyasooka (o)kutwagala;
Ow’ekitiibwa n’ettendo
Eyegyako(e)kitiibwa.
5 of 5 verses
Ffe bwe tuti bwe tusaba,
Yesu (o)tuyambe twetikke,
(o)Musalaba gwaffe leero, Era
tukugoberere