S.D.A Hymnal 391
86. Twaniriza Sabbiti .… ~ Welcome, Welcome Day of Rest…
1 of 3 verses
Twaniriza Sabbiti,
Gye twaweebwa Mukama.
Twanirize n’essanyu
Ekirab(o) ekikulu.
2 of 3 verses
Ekiwumuulo kyaffe,
Eky’eddembe ly’omwoyo;
Kituwonya ennaku
Mu kutegaana kwaffe
3 of 3 verses
Lunaku lutukuvu,
Lwa kusinza Katonda
Lutuwa amagezi,
N’emikisa mingi nnyo!