85 – Yesu Atutuusiza

S.D.A Hymnal 384

85. Yesu Atutuusizza .… ~ Safely Through Another Week …

1 of 4 verses

Yesu atutusizza, ku Sabbiti endala.
Tusab(e) emikisa,
gye yawa (o)lunaku lwe;
Olusinga mu zonna,
(e)kiwummulo kya Yesu,
Olusinga mu zonna,
(e)kiwummulo kya Yesu.

2 of 4 verses

Tusaba ekisa kyo,
Kituke ku ffe leero.
Tulabe amaaso go,
tugyek(o) ebibi byaffe.
Tuwummulire mu Ggwe,
mu kutegana kwaffe,
Tuwummulire mu Ggwe,
mu kutegana kwaffe.

3 of 4 verses

Tuzze okukusinza,
beeranga kumpi naffe.
Tulag(e) ekitiibwa kyo,
nga tuli mu nnyumba yo.
Otuwe okulega ku mbaga yaffe eri,
Otuwe okulega ku mbaga yaffe eri.

4 of 4 verses

Essanyu ly’enjiri yo,
lituggyemu ebibi.
Tubaleng(a) ebibala
Tuwony(e) ennaku yonna
Buli Ssabbiiti bwetutyo
Okutuusa lw’olidda
Buli Ssabbiiti bwetutyo
Okutuusa lw’olidda

 

Back to top button