113 – Waliwo Ensulo

113. Waliiwo Ensulo Ey’omusaayi… ~ There is a Fountain…

1 of 5 verses
Waliw(o) ensul(o) ey’omusaayi ,
okuva mu Yesu Abonoonyi banaabamu,
Ne bawon(a) ekibi Nebawon(a) ekibi
Nebawon(a) ekibi, Abononyi banaabamu,
ne bawon(a) ekibi

2 of 5 verses
(O)mubi oli yasanyuka
(o)kulaba ensulo eyo
Nange omwonoonyi ennyo,
Nnaatukuzibw(a) omwo”
“Nnaatukuzibw(a) omwo
Nnaatukuzibw(a) omwo;
Nange omwonoonyi ennyo,
Nnaatukuzibw(a) omwo

3 of 5 verses
Ayi Omwana gw’endiga,
(O)musaayi gwo gukola
(O)Kutuusa ekkanisa yo,
lwe linunulibwa lwe
linunulibwa lwe linunulibwa;
(O)Kutuusa ekkanisa yo,
lwe linunulibwa

4 of 5 verses
Okuva lwennalab(a) ensulo, ey’ebiwundu byo;
Ndowooza ku kwagala kwo, (O)kutuusa lwe ndifa
(O)kutuusa lwe ndifa (O)kutuusa lwe ndifa;
Ndowooza ku kwagala kwo,
(O)kutuusa lwe ndifa

5 of 5 verses
Ku luli lwendizuukira, Okuva mu ntaana,
Amaanyi g(o) agalokola, Gendiyimbangako
Gendiyimbangako Gendiyimbangako
Amaanyi g(o) agalokola,
Gendiyimbangako”

Back to top button