80 – Tuwe Omuliro Ogwo
S.D.A Hymnal 268
80. Tuwe Omuliro Ogwo.… ~ O For That Flame of Living Fire…
1 of 4 verses
Tuwe omuliro ogwo
Gwe wawa bajjajja baffe;
Ogwabawukanya mu nsi,
Ogwabawanga (o)buzira.
2 of 4 verses
Fuka ku ffe Omwoyo wo
Gwe wawa bajjajj(a) baffe;
Era gwe wawa Paulo,
N’abunyisa enjiri yo.
. 3 of 4 verses
(A)maanyi ge wawa Eriya,
Kakati tugetaaga nnyo
Musa yamasamasanga,
Yobu yagumikiriza.
4 of 4 verses
Jjukira (e)biro eby’edda,
Oze buggy(a) omulimu gwo!
Tukuwadd(e) emyoyo gyaffe;
Fuka amaanyi go ku ffe.