79 – Mpa Okukiriza Okunene
S.D.A Hymnal 533
79. Mpa Okukkiriza Okunene.… ~ O For a Faith…
1 of 5 verses
“Mp(a) okukkiriza (o)kunene, Okutaddirira.”
Nebwekugezebwa ennyo Abalabe
Neme kukankana, Neme kukankana.
2 of 5 verses
Obwavu nga busembera,
Bwemba mbonabona
Ng’umirenga byonna byonna,
Njigiriza Mbeere” mu kkubo lyo,”
Mbeere mu kkubo lyo.
3 of 5 verses
Okukkiriza kwe nsaba kwekweraga ennyo;
Ebikemo nga byetala Neme kutya
N’okubuusabuusa,” N’okubuusabuusa.
4 of 5 verses
Ensi nga ekambuwadde, Nze mbe nga sifaayo;
Obanga bansekerera, Kiremenga”
Kunzigya ku Yesu, Mbeere nga ku Yesu.
5 of 5 verses
Mukama mpa (o)kukkiriza,
Okutaddirira; Byonna ebirimberako
Bimpanguze Ontuus(e) eyo gy’oli,
Ontuus(e) eyo gy’oli.