78. Olijja Ddi Mukama Omulokozi Waffe?.… ~ How Long, O Lord Our Savior?…
1 of 3 verses
Olijja ddi Mukama (O)mulokozi waffe?
Fenna tukwetaga nnyo Olijja ddi Yesu?
Olunaku lwo lujje Olw’ekitalo ennyo;
Ekitiibwa kyo kyonna Kikke ku baana bo.
2 of 3 verses
Tukwetaaga Yesu ggwe Ojje mu bantu bo,
Tulowooza ng(a) oludde Abamu bakooye
Bakola eby’ekyejo N’abamu ku babo,-
Betegese batono Okukwaniriza.
3 of 3 verses
Mukama (o)tuzukuse Otukubirize
Tubuulire bonna nti Yesu ojja mangu”
(E)ttabaza zaffe zake Twesib(e) amazima,”
Era tweteeketeeke Okukwaniriza.