S.D.A Hymnal 601
77. Mmwe Abakuumi Ba Sayuuni.… ~ Watchmen on the Walls…
1 of 4 verses
Mwe (a)bakumi ba Sayuni
Obudde buli butya?
Ali kumpi (O)mulokozi
Okukomawo ku nsi?
Emmunyenye ey’enkya mugirabye?
Emmunyenye ey’enkya tugirabye!
2 of 4 verses
Obudde butangala nnyo
Tuyimbe olw’essanyu
Emmambya yiiyo esaze
Nga emasamasa nnyo!
Tusanyuke Yesu Mukama ajja!
Tusanyuke Yesu Mukama ajja!
3 of 4 verses
Mwe (a)bakuumi mutegeeze
Obubonero bwaffe:
Tusemberedde omwalo,
(O)lukalu lulengerwa?”
Tulengera (a)maka agomu ggulu?
Tulengera (a)maka ag’omu ggulu
4 of 4 verses
(O)bubonero tubulabye
Tunateer(a) okutuuka!
Tugende fenna mu maaso,”
Twogerere waggulu.
Kusembedde (o)kununulibwa kwaffe!
Kusembedde (o)kununulibwa kwaffe!