76 – Ggwe Omwana Wa Yesu

S.D.A Hymnal 594

76. Gwe Omwana Wa Yesu.… ~ Heir of the Kingdom…

1 of 4 verses
Gwe (o)mwana wa Yesu,
Lwaki webaka? Amaka gaffe gali kumpi nnyo!
Zukuka, wesib(e) eby’okulwanyisa,
Obudde bunater(a) okutuuka!

2 of 4 verses
Amawanga gonna gali mu ntalo,
Gonna gakankana olw’entiisa,
Wulira eddoboozi ly’amagaali,
Gwe omwana wa Yesu zukuka!

3 of 4 verses
Tolwa, tolwa, Ensi eno gidduke,
Laba (e)kitiibwa kyayo kiggwawo.
Meny(a) enjegere za Setani ezo,
Gwe (o)mwana wa Yesu Dduka tolwa!

4 of 4 verses
Yimusa (a)maaso go Eri eggulu,
Olabe Yesu Kabaka ajja,
Era laba emmambya ye esaze”
Gwe (o)mwana wa Yesu Sanyuka nnyo!

Back to top button