73 – Yesu Kino Kyenjagala
S.D.A Hymnal 323
73. Yesu Kino Kyenjagala.… ~ O For a Heart to Praise My God!…
1 of 4 verses
“Yesu kino kye njagala,
Omwoyo nga gugwo,
mugonvu er(a)omuwombefu,”
Ogukukkiriza.
2 of 4 verses
Er(a) omwoy(o) oguwulira
(E)biragiro byonna;
Mukama mw’anatuulanga
Okugusanyusa.
3 of 4 verses
Omwoyo ogunazibwa
(O)musayi gwa Yesu,
Ogutabeeramu kibi,
Ogujjudd(e) ekisa.
4 of 4 verses
“(O)mwoyo ogwenkanidd(e)
awo Ogumpe Katonda;
Otwale omutima gwange,”
Onfugire ddala.