71. Gwe Omukristayo Tunula.… ~ Watch For the Time is Short…
1 of 3 verses
Gwe Omukristayo
Tunula kakano, Laba esigadde, Kaseera buseera.
Tunula, Yes(u) ajja, (O)mubiri munafu, (O)mulabe wa maanyi,
Tunula, sabanga.
Chorus:
Omu-kri-sta-yo tunula,
Ekiro n’emisana, tunulanga,
Tunula, Saba.
2 of 3 verses
Leka kubongoota, So tobusabusa Waliw(o) ekirabo,
Kye wasuubizibwa. Kwe kuwummulira Eyo
Yesu gy’ali, Eyakufiirira Tunula, sabanga.
3 of 3 verses
Bw’olumbwa omubi Yesu ye akuwa, Eby’okulwanyisa
Gw’obanga wesiga. Lindirira Yesu, Ye gwe musana gwo.
Kano ke kaseera Tunula, sabanga.