69 – Essuubi Lyange Lizimbiddwa
S.D.A Hymnal 581
69. Essuubi Lyange Lizimbiddwa ~ My Hope Is built
1 of 5 verses
“(E)ssubi lyange lizimbiddwa, ku
Yesu n’omusaayi Ggwe; Sirina kirala kyonna,”
Neesigamye nze ku Yesu
Chorus:
“Ka ’ngumirenga ku Yesu,”
Byonn(a) eby’ensi butaliimu;
Byonn(a) eby’ensi butaliimu.
2 of 5 verses
Byonn(a) eby’ensi ne bwe bijja,
Ka ndowooz(e) eby’omu ggulu;
Mu bulimi ne nnaku,”
Tayinza kundeka nzekka.
3 of 5 verses
Mazima ge ge ga’ngumya,
Ne byonna bye yasuubiza,
Ne bwefirw(a) ebyange byonna,
Ka nesigenga ye yekka.
4 of 5 verses
Ekiseera kiri kumpi
Ka neweyo annogose,
Annaze n’omusayi gwe,
Ampe n’akabonero ke.”
5 of 5 verses
Enkomerero ng’etuuse,
Ensange nga netegese,
Nga nin(a) akabonero ke,
Aka Mwoyo mutukuvu.