64 – Laya Eng’oma Omukuumi
S.D.A Hymnal 619
64. Laya E’ngoma Omukuumi.… ~ “Watchman, Blow the Gospel Trumpet
1 of 4 verses
“Lay(a) e’ngoma omukuumi,
Labula buli muntu; Abawulira e’ngoma”
Benenye balokoke.
Chorus:
“Lay(a) e’ngoma omukuumi,”
Bunyisa mu (e)nsi zonna;
(Wulira) Yesu bwatyo bw’ayagala
Labul(a) abantu bonna.
2 of 4 verses
Laya ku buli kasozi Na buli wantu wonna;
Obulokozi butuuke Mu bizinga by’ennyanja.
3 of 4 verses
Mu bibuga ne mu byalo Ne mu gabira gonna Bakoleeze ettabaaza
Mukama ajja mangu.
4 of 4 verses
Abasibibwa Setani Banafuna eddembe; Omulokoz(i) atuyita
N’okwagala nti “Mujje”.