60 – Mugende Munsi Zonna

S.D.A Hymnal 455 (tune)

60. “Mugende Munsi Zonna”.… ~ For My Sake and the Gospel Go…

1 of 4 verses

“Mugende munsi zonna Mubuulir(e) Enjiri”
Er(i) amawanga “gonna Agabeera mu nsi,
Balyoke bategere Yesu Gwe tusinza”
Bw’ali Katonda”ddala,”
Bw’alokola bonna.

2 of 4 verses

“Mukama waffe Yesu, (O)tunyikize ffena,
Tukolerenga ddala ebitusaanira;
Tweweyo gy’oli leero,”
“(E)mibiri n’emyoyo, Tuleteng(a) ebirabo
N’essanyu lingi nnyo.”

3 of 4 verses

“(O)kugaba kwa mukisa (O)kusinga (o)kuweebwa”
Byonna byetuli nabyo
“Biv(a) eri Katonda; (O)tukirizise ebyo,
Tukwegayiridde Tulem(e) okugamba nti”
Bye byaffe ku bwaffe.

4 of 4 verses
“Ayi Katonda Kitaffe, Oyimuse muffe
(A)bakunguzi abangi, Balyoke bagende
Banyikire nga wonna (O)kubuny(a) enjiri yo,”
Babulirenga bonna. (A)bakulu n’abato.

Back to top button