58. Nze Ndowooza Ku Nsi… ~ I am Thinking Today…
1 of 3 verses
Nze ndowooza ku nsi
eyo
ennungi ennyo
Yesu gy’alitutwala
fenna,
Olw’ekisa kye Oyo
eyatwagala
Ndiba n’emmunyenye
mu ngule?
Chorus:
Mu ngule yange
mulibaamu
(e)mmunyenye
Obudde obwo bwe
bulikya?
Nga ntuuse, mu bifo
biri (e)by’omu ggulu,- Ndiba n’emmunyenye
mu ngule?
2 of 3 verses
Mu maanyi ga Yesu
ka nkole, ka nsabe,
Ka nfube
okubuuliranga;
Emmunyenye ezo
ziriba nnyingi nnyo,
Mu ssanyu lir(i)
eritakoma
3 of 3 verses
Ndisanyuka nnyo
bwe
bwendiraba ku Yesu
Nga nyanjula be
nabuulira;
Nasanyukanga mu
maaso ge bwe ndiba
N’emmunyenye mu
ngule yange.