Christ in Songs 513
57. Tewewolereza… ~ Ask Not to be Excused…
1 of 3 verses
Tewewolereza, (O)mulimu munene
Weewereyo ddala Yesu akukozese;
Ayita nekisa, Jjangu ompeereze,
Weewereyo ddala, Olisanyusibwa
Chorus:
Kkiriza, ( leero)Tewewolereza;
Kkiriza, ( leero)Weewereyo ddala
Bw’onewolereza,
Onoddibwamu nti,
“Kale, tonjagala,
Ogobeddwa wendi.”
2 of 3 verses
Tewewolereza, Yesu akuyita,
Oludde ng’ogaana,
Kakano kkiriza.
(E)nnimiro zengedde,
(A)bakozi batono;
Kkiriza n’essanyu
Okumuwereza.
3 of 3 verses
Tewewolereza, Okulwa kya kabi,
Ng’otenguwa Yesu,
Oy(o) eyakwagala;
Mu kiseera kino,
ng(a) ekisa wekiri,
Ng’akuwolereza,
Jjangu (o)sonyibwe.