56 – Wonnya Bonna

S.D.A Hymnal 623

56. Wonya Bonna Abo Abali Mu Kibi… ~ Rescue the Perishing…

1 of 4 verses

Wonya bonna ab(o) abali mu kibi
Bakwakule okuva mu kufa;
Sasira abantu abalumwa (e)nnyo.
Balag(e) obulokozi bwa Yesu.

Chorus:

Leet(a) abantu bonna,
Abali mu kuffa
Bawone olw’ekisa kya Yesu.

2 of 4 verses

Newakubadde nga bo bamunyoma,
Ye yetaaga okubalokola.
Abayita bonna n’okwagala kwe,
Bwe bakiriza anasonyiwa.

3 of 4 verses

Ab(o) abayonoonebwa omulabe
Mukama ajja kubaza buggya.
Olw’okagala kwe, era n’ekisa
Anawonya buli (e)kyonoonese.

4 of 4 verses

Fubanga ku lw’abo bonn(a)
ababula
Mukama anakuwa ammanyi.
Bakomyewo (a)bangi mu kkubo
(e)ddungi;
Bategeez(e) eyafa ku lw’ababi.

Exit mobile version