55 – Kakano Tusiga
S.D.A Hymnal 369
55. Kakano Tusiga… ~ Sowing in The Morning…
1 of 3 verses
Kakano tusiga,
ensigo za Yesu,
Twokebw(a)
omusana,
tuba mu mpewo;
Tulind(a) ekiseera
ekya makungula
Tuliba n’essanyu,
nga tukungula
Chorus:
Nga
tuyingiza ,ebikungulwa,
Tuliba n’essanyu
nga tuyingiza;
Nga tuyingiza,
ebikungulwa,
Tuliba n’essanyu
nga tuyingiza.
2 of 3 verses
Siga mu musana,
siga ne mu nkuba,
Awatali kutya
nnaku na ntiisa;
Ekiseera kijja, mu
makungula ge,
Tuliba n’essanyu,
nga tukungula
3 of 3 verses
Mu kiseera kino,
tukola na nnaku,
Emirundi mingi,
tufiirwa era;
(E)nnaku bwe
ziriggwa,
alitusanyusa,
Tuliba nessanyu,
nga tukungula