53 – Nsanyuka Okwogera
S.D.A Hymnal 518
53. Nsanyuka Okwogera… ~ I Love To Tell The Story…
1 of 4 verses
Nsanyuka okwoge-ra
Ku by’eri mu -ggulu,
Ku kitiibwa kya Yesu
E-ra bw’atwa-gala;
Njagal(a) okubyogera
Kuba mbikaka-sa,
Bimpumuza omwoyo
Okusinga byonna.
Chorus:
Nsanyuka Okubinyumya,
Nnaabyogerangak(o) ebyo.
Ebigamb(o) e-bikulu,
(E)by’ekisa kya Yesu
2 of 4 verses
Nsanyuk(a) okubinyu-mya,
Bya kitalo- ddala;
Bisinga byonna byonna
Bye- tulowoo-zako.
Nabinyumyanga ebyo
Bikulu nnyo gye-ndi,
N’olw’ekyo nsanyuka nnyo,
(O)kubyogera wonna.
3 of 4 verses
Binsanyusa nnyo nnyi-ni,
Okubyoge-rako,
Buli lwe mbyogerako
Nze- bimpomera nnyo.
Nsanyuk(a) okubinyumya
Bangi tebama-nyi
(o)bulokozi bwa Yesu
Mu byawandikibwa.
4 of 4 verses
Njagal(a) okubyog-era,
Er(i) ababi-manyi,
Ababyetaaga ennyo O-kubiwu-lira.
Bwenituuka mu ggulu,
Oluyimba lwa-nge
Biriba bigamb(o) ebyo,
Bye njagala ennyo.