50 – Katonda Abeerenga Naawe
S.D.A Hymnal 35
50. Katonda Abeerenga Naawe… ~ God Be With You…
1 of 4 verses
Katonda abeerenga nawe,
Akuwenga omukisa,
Akukuume mu kwagala,
Okutuusa Yesu lw’alijja.
Chorus:
Weraba- – -, weraba,Otambule mi-re-mbe;
Weraba,- – – weraba,- – Mulokozi abeere naawe.
2 of 4 verses
Katonda abeeerenga naawe,
Akukwate mu ngalo ze,
Akuw(e) emmere y’omwoyo,
Akukume mu (o)kwagala kwe.
3 of 4 verses
Katonda abeeerenga naawe,
Entiisa bw’erikujjira,
Akwetoloze ekisa,
Abeerenga nawe bulijjo.
4 of 4 verses
Katonda abeerenga naawe,
Era akuwe eddembe,
Akuyise mu mayengo,
Akutuse mu kisulo kye.