48 – Nkwagala Ggwe Ayi Yesu
S.D.A Hymnal 301
48. Nkwagala Ggwe Ayi Yesu… ~ I know I Love Thee Better, Lord…
1 of 4 verses
Nkwagala Ggwe ayi Yesu
Okusinga byonna!
Kubanga wampa eddembe
Erising(a) ery’e-nsi.
Chorus:
Nga tekutegerekeka,(Kwagala),
(O)kwagala kw’olina;
Era nga tegutendeka,(musaayi)
(O)musaayi gwa Yesu!(Musaa-yi gwo!)
2 of 4 verses
Manyi ng’oli kumpi nange
Okusinga ensi;
Ebigambo biwonya
Obulumi mu-nda.
3 of 4 verses
Wateeka essanyu mu nze,
Ka nsanyukenga nnyo;
Singa tewa’ngumya (o)mwoyo,
Nandiraby(e) enna-ku.
4 of 4 verses
Ayi Mulokozi wange,
Eyo ndibeera ntya?
Obanga essanyu lyo eryo,
Linsanyusa ku- nsi?