45 – Enjuba Eyaka Ku Ntiiko
S.D.A Hymnal 612
45. Enjuba Eyaka Ku Ntiko… ~ There Is Sunlight on The Hilltop…
1 of 3 verses
Enjuba eyaka ku ntikko,
Ku nsozi ne ku nnyanja;
Omusana gulengerwa
eli ku lubalama
Naye omusana mungi,
Gwaka mu mwoyo gwange,
Kuba Yesu ali mu nze,
Aleeta enjuba ye.
Chorus:
Ggwe omusana omulungi,
Ogwaka munda yange;
Yesu Ggwe omusanyusa,
Ggwe enjuba yange nze.
2 of 3 verses
Mu nfufu nze mwe ndireka,
Ennaku zange zonna,
Nga onyambazizz(a) esanyu,
N’ettendo lyo eringi.
Mu maka ag’ekitiibwa,
Gewanongoseza nze,
Ndigenda nga njijjudde nnyo,
Ekitiibwa kyo munda.
3 of 3 verses
Mukama Ggwe eyantonda,
ndi wuwo okuva (e)dda;
Ettabaza yo gye wampa,
Eyakenga bulijjo;
Mu maka ag’ekitiibwa,
Ge wannongoseza nze,
Ndigenda nga njijjude,
nnyo Essanyu mu mutima.