44 – Tewali Mukwano Nga Mukama
S.D.A Hymnal
44. Tewali Wa Mukwano… ~ There is not a friend…
1 of 5 verses
Tewali Wa mukwano nga Yesu
Tewali, tewali;
Atuwonya endwadde z’omwoyo,
Tewali, tewali.
Chorus:
Ye amanyi (o)buzibu bwaffe,
Alitutuusa mu ddembe;
Tewali mukwano nga Mukama,
tewali, tewali;
2 of 5 verses
Tewali mutukuvu nga Yesu,
Tewali mulala;
So tewali muwombefu nga ye,
Ye yekka, Mukama.
3 of 5 verses
Bulijjo abeera kumpi naffe,
Kumpi nnyo, kumpi nnyo;
Ne mu kizikiza atwakira,
Abeera kumpi nnyo.
4 of 5 verses
Yesu ayinza okutuleka?
(O)mwesigwa tayinza!
Agoba omubi ajja gy’ali?
(O)kugoba, tayinza!
5 of 5 verses
Kirabo ki ekyenkana Yesu,
Tewali na kimu!
Talitutuusa gy’ali mu ggulu?
Agambye, wewawo.