43 – Nsanyukira Obulamu
S.D.A Hymnal 469
43. Nsanyukira obulamu Bwange… ~ What a Fellowship…
1 of 3 verses
Nsanyukira obulamu bwange,
Bwe mbeera awamu ne Yesu;
Omukisa gyendi n’emirembe,
Bwe mbeera awamu ne Yesu;
Chorus:
Nywera, Nywera,
(Nyweranga, nywera) *2
Owangule mu linnya lye;
Nywera, Nywera,
(Nyweranga, nywera) *2
Ng’oli awamu ne Mukama
2 of 3 verses
(E)kkubo lye lireeta (e)sanyu lingi
Kubanga atukulembera.
Omusana gwe gwaka bulijjo,
Kubanga atukulembera.
3 of 3 verses
Kintu ki ekiyinz(a) okuntisa,
Bwe mbeera awamu ne Yesu?
Mbeera n’eddembe lingi bulijjo,
Bwe mbeera awamu ne Yesu.