42 – Omwoyo Owa Katonda
S.D.A Hymnal 213
42. Omwoyo Owa Katonda… ~ Spirit Divine, Attend Our Prayer…
1 of 5 verses
Omwoyo wa Katonda
wulir(a) abaana bo;
Ofuula emyoyo gyaffe
Ekifo mw’obeera.
2 of 5 verses
Beera mu ffe maanyi mangi,
Tube bawanguzi;
Tukuz(a) emitima gyaffe nga
saddak(a) ennungi.
3 of 5 verses
Twakiz(e) omusana
tuwe amazima gonna;
Yoles(a) ekkubo efunda
lye tuba tukwata.
4 of 5 verses
Tonyesa ku ff(e) omukisa
mu ssaw(a) entukuvu;
Buli omu anafuye
aweebwe amaanyi.
5 of 5 verses
Jangu ng(a) empewo leero,
Pentekote yaffe;
Jangu, obulokozi bwo
bubune ku ns(i) eno.