S.D.A Hymnal 208
39. Emikisa Ggyo Mukama… ~ Lord, I Hear of Showers of blessing…
1 of 4 verses
Emikisa gyo Mukama,
mpulidde ogigaba;
Abalala bagifuna,
Nange ka ginjikeko.
Chorus:
Ndi wano, ndi wano,
Nange ka ginjiikeko.
2 of 4 verses
Yesu Mukama tonsubya,
Laba bwe ndi omubi,
Naye omponye mu byonna,
Ka mpeebwe ku kisa kyo.
3 of 4 verses
Wewawo nkusobezza nnyo,
Laba bwe ndi omubi,
Nga ngoberera eby’ensi,
Naye nsab(a) onsonyiwe.
3 of 4 verses
Tonvaako ayi Katonda,
Ggw(e) otuwa okumanya,
Ndaga ekisa kya Katonda,
Ompe emirembe gyo.