35 – Nsanyuka Okuyimba

S.D.A Hymnal 635

35. Nsanyuka Okuyimba… ~ Redeemed! How I Love to Proclaim It…

1 of 5 verses

Nsanyuk(a) okuyimba
nti
“Yesu Yannunula
(o)lw’okufa kwe.”
Mu kwagala kwe
yannunula
Ndi wuwe (e)mirembe
gyonna.

Chorus:

Yannunula,
Yannunula
(o)lw’okufa kwe
Yannunula,- – Ndibeera naye
bulijjo

2 of 5 verses

Yannunula
nsanyuka mu ye,
Essanyu lyange
lingi nnyo,
Nga ndaba nti
omusana gwe,
Gunabanga mu
nda yange.

3 of 5 verses

Buli kaseera
konna konna,
Ndowooza ku
Mulokozi,
Era olw’essanyu
ne nnyimba
Ku kwagala kwe
okungi.

4 of 5 verses

Lunaku lwe bwe
lulituuka,
Ndiraba Kabaka
wange,
Ankuuma mu
lugendo lwange,
Ansanyusa
omwoy(o) gwange.

5 of 5 verses

Manyi
ng’aterekedd(e)
engule,
Mu nyumba ye
ey’omuggulu
Bw’alimala
okunongosa
ndibeera naye
bulijjo.

Exit mobile version