34 – Ontegeze Ku Bya Yesu

S.D.A Hymnal 534

34. Ontegeeze Ku bya Yesu… ~ Tell Me The Story of Jesus…

1 of 3 verses

Ontegeeze ku bya Yesu
Mbinywreze ku mwoyo;
Ebyo bisinga (o)bulungi
Byonna (e)by’omunsi
muno;
Baamalayika bayiimba
Yesu bwe yazaalibwa;
Katond(a) aweebwe
(e)kitiibwa,
(E)mirembe gibe mu nsi

Chorus:

Ontegeeze ku bya Yesu,
Mbinywereze ku mwoyo
Ebyo bisinga (o)bulungi
byonna (e)by’omu nsi muno.

2 of 3 verses

Bwe yabeera mu
lukoola
Mu nnaku ezo zonna.
Bwe yakemebwa
setaani,
Era bwe yawangula.
Mbulir(a) eby’omulimu
gwe,
N’ebyennaku ze zonna;
Bwe
yabonyabonyezebwa,
N’anyomebwa abantu;

3 of 3 verses

Mbulir(a)
eby’omusalaba,
bwe baamukomerera;
Ne bamuziika mu
ntana,
N’azukira mu bafu.
Okwagala kwe
(o)kunene,
Tunakwenkanya naki?
Kale ka nebaze Yesu ,
Mukama yanunula.

Back to top button