S.D.A Hymnal 390
33. Onsembeze Ayi Mukama…. ~ Nearer, Still Nearer…
1 of 4 verses
Onsembeze ayi Mukama,
Naye sirina konna ke nkuwa;
Onkumire mu kifuba kyo
Akabi konna gye katatuuka;
Akabi konna gyekatatuuka.
2 of 4 verses
Onsembeze ayi Mukama,
Naye sirina konna ke nkuwa;
Ndeese ebibi byange byonna,
gwe onongose n’omusaayi gwo;
Ggwe onongose n’omusayi gwo.
3 of 4 verses
Onsembeze mbe wuwo wekka,
Ebibi byange byonna mbiwaayo;
N’okwesiima kwonna (o)kwekibi,
Neetaga Yesu eyanfiirira;
Neetaga Yesu eyanfiirira.
4 of 4 verses
Onsembeze ddala gy’oli,
Ontuuse mu kitiibwa kyo kiri;
Eky’emirembe n’emirembe,
Mbeerenga wamu ne Yesu wange;
Mbeere wamu ne Yesu wange.